Waliwo abazadde abasobeddwa ewaka ne mukibira oluvanyuma lw’okubulwako omwana waabwe ow’emyaka etaano, nga kati wayise wiiki nnamba nga tamanyiddwako mayitire. Omwana ono ategeerekese nga ye Patricia Maasa alabwako mu katambi ka kamera z’okunguudo nga aliko omukazi gwagenda naye wadde nga abazadde bagamba nti omuntu ono tebamumanyi. Ensonga zino Poliisi yatandise dda okuzigoberera.