OKUFUNA EMIRIMU EBWERU; Ekibiina ky’abajjanjabi kyagala gavumenti ebaggyeko envumbo

Abakulira ekibiina ekitaba abajjanjabi mu ggwanga ki Uganda Nurses and Midwives Union baagala gavumenti ajjewo ekkoligo erigaana abajjanjabi n’abazaalisa okutwalibwa ebweru w’e ggwanga okufuna e mirimu. Pulezidenti w’ekibiina kino Justus Cherop agamba nti nabo era nga bannayugana abalala bayita mu kusomoozebwa kw’ebbula ly’emirimu, kale nga bwe bagaanibwa okugenda okukolera ebweru w’e ggwanga mu butongole kiba […]

Kiikino ekibiina ekiyamba okutumbula embeera mu ghetto

Mu bulamu obwa bulijjo, abantu abwangaalira mu bitundu ebiri mu nzigotta oba Ghetto batwalibwa ng’abaalemwa era ensi beyakwatako. Kyokka olw’okuba nabo bakimanyi nti ensi yabavaako, baasalawo okwerondamu abakulembeze abatali ba kukubako kalulu, nebeewa obuvunanyizibwa obw’okufuukira ekitundu omumuli. Tutuseeko e Kawempe mu kitundu ekimanyiddwa Gaza gyetusanze omuvubuka Mustapha Bbosa akulembera banne nga ono yatandikawo n’ekibiina kyeyatuuma […]

Ab’e Kamwenge beezimbidde eddwaliro

Waliwo abatuuze ku byaalo bisatu okuli Kagada, Kakindo ne Nyabugaara mu ggombolola ye kahunge mu district ye Kamwenge abeekozeemu omulimu nebeezimbira eddwaliro nga kati baagala gavumenti ebafunire abasawo n’ebikozesebwa mu ddwaliro lino. Eddwaliro lyawemmensi obukadde mukaaga abatuuze bwe beesonze nga bawaayo emitwalo ebiri buli omu. Kiyagara Health Centre 3 bano lye babadde bettanira, lyesudde ebbanga […]

Fr Ssebunya ayambalidde abatendeka abaana ebitaggya mu myaka gyabwe

Ekeleziya eyagala gavumenti etandike okulondoola enyimba eziyimbibwa abayizi ku bubaga obw’enjawulo naddala obuggalawo omwaka gw’ebyensoma oba Speech Day, ng’egamba waliwo amasomero agatendeka abayizi ennyimba n’amazina ebitagya mu myaka gyabwe. Bino byogeddwa Rev Fr Joseph Mary Ssebunya mukuyimba mmisa y’abaana etegekeddwa ku Lutikko e Lubaga nga ekeleziya yeefumiitiriza ku lunaku lw’abaana abaalangibwa obusa.

Waliwo omukazi akawatiddwa lwa kusibira baana mu nju

Ab’obuyinza ku kyalo Kazo Central Zone 1 mu gombolola ye Nansana, bakutte maama ow’abaana babiri, ng’alangibwa kubasibiranga mu nnyumba yye n’agenda okunywa omwenge. Abatuuze bagamba nti baludde nga balaba omukyala ono Sarah Nakibuule nga asibira abaanabe mu nnyumba ne basiiba njala, ekibawaliririzza okwekubira enduulu. Poliisi etubuulidde nti ono agenda kuggulwako gwa kubonyabonya baana.

E Kanyanya waliwo abamaze wiiki nga tebalaba mwana waabwe

Waliwo abazadde abasobeddwa ewaka ne mukibira oluvanyuma lw’okubulwako omwana waabwe ow’emyaka etaano, nga kati wayise wiiki nnamba nga tamanyiddwako mayitire. Omwana ono ategeerekese nga ye Patricia Maasa alabwako mu katambi ka kamera z’okunguudo nga aliko omukazi gwagenda naye wadde nga abazadde bagamba nti omuntu ono tebamumanyi. Ensonga zino Poliisi yatandise dda okuzigoberera.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps