Ssaalongo Erias Lukwago akakasizza nga Munnamateeka munne Martha Karua okuva mu ggwanga ly’e Kenya bweyazzeemu okuteekayo okusaba kwe eri akakiiko k’eby’amateeka , Law Council, kamukkirize okukulemberamu bannamateeka ba Dr. Kizza Besigye ne Obeid Lutale abakyali ku alimanda e Luzira. Okusinziira ku Lukwago balina essuubi nti ku luno akakiiko ssi kaakwekwasa nsonga yonna kubanga baafubye okutuukiriza buli kakwakkulizo akayinza okuba nga keekaalemesa okusaba okwasooka.
Omusango gwa Besigye, Martha Karua azzeemu okusaba olukusa
- Category:
- News
- NTV Akawungeezi
- Tags:
- Court Martial
- Dr. Kizza Besigye
- Law Council
- Luzira prison
- Martha Karua
- Obeid Lutale
- Ssaalongo Erias Lukwago
