Abakulu okuva mu banka enkulu ey’e ggwanga kko ne minisitule y’ebyensimbi bakubaganidde empawa mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti ka COSASE bwe babadde bayitiddwa okunyonyola engeri obuwumbi obusoba mu 60 gye bwabulamu okuva mu banka enkulu.Aba Minisitule y’ebyensimbi babuulidde ababaka nti kkampuni ezaasasulwa ssente tezimanyiddwa mu kkampuni ezikolagana ne gavumenti era tebamanyi na lwaki abantu bano baasasulwa ensimbi z’omuwi w’omusolo.Kyoka abakulu okuva mu banka enkulu oba Bank Of Uganda balumiriza nti okusasula ensimbi zino basooka kufuna kulagirwa okuva eri minisitule ye by’ensimbi newankubadde yegaana .