E Kanyanya waliwo abamaze wiiki nga tebalaba mwana waabwe

Waliwo abazadde abasobeddwa ewaka ne mukibira oluvanyuma lw’okubulwako omwana waabwe ow’emyaka etaano, nga kati wayise wiiki nnamba nga tamanyiddwako mayitire. Omwana ono ategeerekese nga ye Patricia Maasa alabwako mu katambi ka kamera z’okunguudo nga aliko omukazi gwagenda naye wadde nga abazadde bagamba nti omuntu ono tebamumanyi. Ensonga zino Poliisi yatandise dda okuzigoberera.

Gwe basanze mu bwenzi asse bba e Luweero

Poliisi mu district y’e Luwero etandise okunoonyereza ku mukyala eyakkakanye ku bba n’amukuba ejinja eryamugye mu budde. Charles Bunjo atemera mu gy’obukulu 54 kati z’embuyaga ezikaza engoye nga kikambibwa nti ono okulwanagana ne mukyala we Regina Namande ow’emyaka 38 yabadde amulanga bwenzi nga yatuuse n’okuleeta omusajja omulala mu maka ge.

Omusajja asse eyamusigulidde omukazi ku Ssekukkulu

Poliisi e Mityana enoonya omusajja Peter Bafiirawala omutuuze ku kyalo Mamba mu gombolola ye Kalangaalo lwa kutta abadde mukwano gwe Godfrey Ssekiwunga lwa nkayana za mukyala. Tukitegedde nti bano baabade ku mwenge, bafiirawala weyakizuulidde nti ssekiwunga amwagalira omukyala , ekyaddiridde kwabadde kulwanagana okukakana nga mutuzze ekiso. Mukaseera kano poliisi ekyanoonya Bafiirawala abitebye.

Police warn on incomplete buildings as crime hideouts

Police have issued a warning regarding incomplete buildings, stating that these structures serve as hideouts for criminals. This follows the arrest of five suspects allegedly behind the rampant burglary and theft of electronics in Kinawataka Zone, Nakawa Division, Kampala City. The suspects were arrested on Saturday during a joint operation conducted by the police, UPDF, […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps