Mu bulamu obwa bulijjo, abantu abwangaalira mu bitundu ebiri mu nzigotta oba Ghetto batwalibwa ng’abaalemwa era ensi beyakwatako. Kyokka olw’okuba nabo bakimanyi nti ensi yabavaako, baasalawo okwerondamu abakulembeze abatali ba kukubako kalulu, nebeewa obuvunanyizibwa obw’okufuukira ekitundu omumuli. Tutuseeko e Kawempe mu kitundu ekimanyiddwa Gaza gyetusanze omuvubuka Mustapha Bbosa akulembera banne nga ono yatandikawo n’ekibiina kyeyatuuma Turf Empire.