Kikakasiddwa nti Omukulembeze we Ggwanga yalonze Sharifah Buzeki ku bwa Nnakulu bw’ekitongtole ki KCCA ne Benon Kigenyi ng’omumyukawe , nga bano bazze mu bigere bya Dorothy Kisaka ne David Ssali Luyimbazi abagobwa gye buvuddeko. Ekiwandiiko ekivudde mu wofiisi ya pulezidenti kiraze nti kati bano amannya gaabwe gaweerezeddwa mu minisitule ekola ku byabakozi, bakole ku kontulakiti zaabwe , n’engeri gye bakwasibwamu wofisii mu butongole. Bano bagenze okulondebwa nga wofiisi ekuumwa Frank Rusa eyali munnamateeka we kitongole kino.