Abakulira ekibiina ekitaba abajjanjabi mu ggwanga ki Uganda Nurses and Midwives Union baagala gavumenti ajjewo ekkoligo erigaana abajjanjabi n’abazaalisa okutwalibwa ebweru w’e ggwanga okufuna e mirimu. Pulezidenti w’ekibiina kino Justus Cherop agamba nti nabo era nga bannayugana abalala bayita mu kusomoozebwa kw’ebbula ly’emirimu, kale nga bwe bagaanibwa okugenda okukolera ebweru w’e ggwanga mu butongole kiba kibanyiga. Bino babyogedde batunyonyola bye bayiseemu mu mwaka 2024.