Busiika awuumye nga abavuzi beetwala mu mpaka za Champions Sprint

Ba ddereeva ba mmotoka z’empaka 56 be beetabye mu mpaka za Champions Sprint olwaleero e Busiika ku Uganda Motor-sports arena. Abaavuzi abeetabyemu batubuulidde ng’empaka bwezibayambye mu kwetegekela sizoni y’omwaka oguuja ezitandika omwezi ogujja. Empaka zino zeezigaddewo sizoni y’omuzannyo gwa motoka z’empaka omwaka guno ate nga zeezisembyeyo mu lwokaano lw’engule ya National Sprint championship.

Omusango gwa Besigye, Martha Karua azzeemu okusaba olukusa

Ssaalongo Erias Lukwago akakasizza nga Munnamateeka munne Martha Karua okuva mu ggwanga ly’e Kenya bweyazzeemu okuteekayo okusaba kwe eri akakiiko k’eby’amateeka , Law Council, kamukkirize okukulemberamu bannamateeka ba Dr. Kizza Besigye ne Obeid Lutale abakyali ku alimanda e Luzira. Okusinziira ku Lukwago balina essuubi nti ku luno akakiiko ssi kaakwekwasa nsonga yonna kubanga baafubye okutuukiriza […]

Omusajja asse eyamusigulidde omukazi ku Ssekukkulu

Poliisi e Mityana enoonya omusajja Peter Bafiirawala omutuuze ku kyalo Mamba mu gombolola ye Kalangaalo lwa kutta abadde mukwano gwe Godfrey Ssekiwunga lwa nkayana za mukyala. Tukitegedde nti bano baabade ku mwenge, bafiirawala weyakizuulidde nti ssekiwunga amwagalira omukyala , ekyaddiridde kwabadde kulwanagana okukakana nga mutuzze ekiso. Mukaseera kano poliisi ekyanoonya Bafiirawala abitebye.

Theodore Ssekikubo alabudde abeekobaanye okumusuula

Omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo yeeweze okufaafagana ne muto wa President Museveni Michael Nuwagira eyeeyita Toyota wamu n’abaaliko abajaasi mu ggye lya UPDF okuli Maj. Gen. Fenehandi Keitirima ne Brig. Gen. Emmanuel Rwashande abeesomye okutondawo akabinja akamulwanyisa. Ku bbalaza ya wiiki eno, Ssekikubo yakubwa omukka ogubalagala n’abawagizi be bwe baali bagezaako okuyingirira olukiiko abakulu abo […]

Saagala tube mu ntalo – Lukwago alabudde akulira KCCA omuggya

Kikakasiddwa nti Omukulembeze we Ggwanga yalonze Sharifah Buzeki ku bwa Nnakulu bw’ekitongtole ki KCCA ne Benon Kigenyi ng’omumyukawe , nga bano bazze mu bigere bya Dorothy Kisaka ne David Ssali Luyimbazi abagobwa gye buvuddeko. Ekiwandiiko ekivudde mu wofiisi ya pulezidenti kiraze nti kati bano amannya gaabwe gaweerezeddwa mu minisitule ekola ku byabakozi, bakole ku kontulakiti […]

Agro insurance implementers want subsidy increased to UGX 15 billion

Eight years after its launch, the Agro Consortium, established to develop agricultural insurance products under the Uganda Agricultural Insurance Scheme, has so far insured 700,000 farmers against a target of 10 million insurable farmers. John Makosya, a senior officer at the Agro Consortium, says progress has stagnated due to the exhaustion of the Shs 5 […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps