Theodore Ssekikubo alabudde abeekobaanye okumusuula
Omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo yeeweze okufaafagana ne muto wa President Museveni Michael Nuwagira eyeeyita Toyota wamu n’abaaliko abajaasi mu ggye lya UPDF okuli Maj. Gen. Fenehandi Keitirima ne Brig. Gen. Emmanuel Rwashande abeesomye okutondawo akabinja akamulwanyisa. Ku bbalaza ya wiiki eno, Ssekikubo yakubwa omukka ogubalagala n’abawagizi be bwe baali bagezaako okuyingirira olukiiko abakulu abo […]
