Kuuma eddembe ly’obuntu – Ssaabasumba Ssemwogerere asabye gavumenti

Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere asabye gavumenti essira okuliteeka ku kukuuma eddembe ly’obuntu kko n’okulwanyisa enguzi, by’agamba nti bifuuse baana baliwo mu ggwanga lyattu. Bino Ssaabasumba abyogeredde mukubuulira n’okuwa obubaka bwe obw’amazaalibwa ku Lutikko e Lubaga.

UPDF ekoze bbandi egenda okukubanga ebivvulu

Amagye ga UPDF galeese ekibinja kyabayimbi ne banda eyeetongodde bavuganye mu kisaawe ky’okuyimba n’okwewummuzaamu. Batubuulidde nti babade bakooye okupangisa abayimbi naddala ku mukolo gyabwe, kati baagala byonna babyekolerere, nga bagattako nokuyimbira bannayuganda abalala ababa babeetaaze. Bano baakwegatta ku biwayi bya bannabitone ebirala ebiri mu maggye gamba ng’abaddusi,abakubi b’ebikonde, abazanyi b’omupiira n’abalala.

Temudda mu ttamiiro ne bwenzi – bannadiini balabudde abakkirizza

Bannaddiini mu bitundu by’e Tooro baagala abalonzi okweyambisa omwaka ogujja 2025, okwetegereza engeri gye bagenda okulondamu mu kalulu ka 2026. Bano okuli omulabiririzi w’e Rwenzori n’omusumba w’essaza ly’e Fort Portal Robert Muhiirwa bennyanvu olw’obwavu mu kitundu kyabwe ekiviiriddeko obuseegu okweyongera nga kati n’abawala abateetegese bafuna embuto. Bino bibadde mu bubaka bwabwe obwa Ssekukkulu.

Ssaabasajja Kabaka awadde obubaka bwa Ssekukkulu

Ssaabasajja Kabaka wa Ronald Muwenda Mutebi ssi musanyufu n’engeri palamenti gy’ekubaganyaamu ebirowoozo ku nsonga eziruma eggwanga,nga kino akyesigamizza ku kulwanagana mu babaka okuzze kubeera mu palamenti eno. Kabaka agamba nti okulwanagana nga kuno kulaga nti alina amaanyi agalwana ekiteesokye kye kiyitamu. Obunyikaavu buno abutadde mu bubaka bw’amazaalibwa bw’atisse omwogezi w’obwakabaka Owek.Israel Kazibwe Kitooke.

Obubbi bw’ebisolo, poliisi erabudde abalunda ku nnaku enkulu

Ng’ebula olunaku lumu okutuuka ku Ssekukulu y’omwaka guno, poliisi etegeezezza nga bw’enyinyitiza ebikwekweto ku bubbi bw’ebisolo, era ng’ebisolo ebisoba mu bikumi 400 okuli ente n’embuzi byebyakanunulwa okuva mu mikono gy’abanyazi. Okusinziira ku Mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma, ebikwekweto bino ebyatandika mwezi oguwedde bikoleddwa mu disitulikiti okuli Luweero, Nakaseke ne Nakasongola. Ono era asabye […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps