OKUFUNA EMIRIMU EBWERU; Ekibiina ky’abajjanjabi kyagala gavumenti ebaggyeko envumbo
Abakulira ekibiina ekitaba abajjanjabi mu ggwanga ki Uganda Nurses and Midwives Union baagala gavumenti ajjewo ekkoligo erigaana abajjanjabi n’abazaalisa okutwalibwa ebweru w’e ggwanga okufuna e mirimu. Pulezidenti w’ekibiina kino Justus Cherop agamba nti nabo era nga bannayugana abalala bayita mu kusomoozebwa kw’ebbula ly’emirimu, kale nga bwe bagaanibwa okugenda okukolera ebweru w’e ggwanga mu butongole kiba […]
