Wabaddewo okulwanagana e Lwemiyaga wakati wa Toyota ne Ssekikubo

Wabaddewo okulwanagana mu disitrict ye Ssembabule e Lwemiyaga wakati wa bakulembeze okuli Micheal Nuwagira Amanyiddwa nga Toyota kko n’omubaka w’ekitundu kino Theodore Ssekikubo. Tukitegedde nti bino byonna okubaawo kiddiridde Toyota n’abajaasi abalala okuli ne Felix Kaitirima okukuba olukung’ana batongoze kye bayise Lwemiyaga Liberation Transformation Front , kyokka ne bagoba mu buli muntu gwe basuubira nti […]

Ebibanja mu Nalubaale, waliwo akubye ssengenge ku mwalo

Abavubi abakakkalabiza emirimu gyabwe ku mwalo gw’e Kigungu mu district y’e Wakiso bali mukusoberwa oluvannyuma lw’ekifo webabadde bagolomolera amaato gaabwe okusibwaako ssengengenge. Tukitegedde nti bano baakedde ekifo kisibiddwa awatali yadde okunnyonnyolwa.Baliko munnansi wa Canada gwe balumiriza okukola kino. Basabye ekitongole ekivunaanyizibwa ku By’obuvubi kijje kibannyonnyole ekigenda mu maaso.

Francis Zaake emisango gimuvunaanwa mu bukyamu – Charles Onen

Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake, asanyukidde eky’okuba nti abakulira akakiiko ka palamenti akakwasisa empisa nabo bavuddeyo nebakizuula nti emisango egyamutwazaayo gyonna tegyalimu nsa. Zaake okwogera bino, kiddiridde amyuka ssentebe w’akakiiko kano Charles Onen okutegeeza NTV mu mboozi ey’akafubo nti ekituufu omusajja bulijjo bamulanga bwemage bwe balanga enjobe mu kitoogo. Onen agamba ngi egimu […]

Ekitongole ki KCCA kitaddewo akakiiko akarwanisa obuli bw’enguzi

Ekitongole ki KCCA kitandisewo akakiiko akagenda okwekenneenya n’okunoonyereza ku nsonga z’obuli bw’enguzi mu kitongole ki kino okulaba nga bamalawo obulyake mu kitongole. Kino kiddiridde obuli bw’enguzi obuli mu kitongole nga muno mwotwalira abatembeyi abaggibwako byebantunda nga balina kuwa nguzi okuddamu okubifuna. Rusa olwaleero ayogedde ku nnaku ze ekikumi ezisoose bukya atuula ku bukulu bw’ekitongole kino.

Obubbi bw’ebisolo, poliisi erabudde abalunda ku nnaku enkulu

Ng’ebula olunaku lumu okutuuka ku Ssekukulu y’omwaka guno, poliisi etegeezezza nga bw’enyinyitiza ebikwekweto ku bubbi bw’ebisolo, era ng’ebisolo ebisoba mu bikumi 400 okuli ente n’embuzi byebyakanunulwa okuva mu mikono gy’abanyazi. Okusinziira ku Mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma, ebikwekweto bino ebyatandika mwezi oguwedde bikoleddwa mu disitulikiti okuli Luweero, Nakaseke ne Nakasongola. Ono era asabye […]

Engendo za Ssekukkulu, ab’e Mubende baasuze ku kkubo lwa luguudo

Eby’entambula bisannyaladde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende mubitundu bya Kalongo ne Mukyenda oluvannyuma lw’enkuba okufudemba eviiriddeko oluguudo okuseerera. Tukitegedde nti abagoba abamu baasuze wano olw’embeera y’ekkubo okulabalemesa okweyongerayo era nga akalippagano ketusanzeewo ka maanyi. Oluguudo luno luli mu kukolebwa era ekitongole ekikola enguudo ki UNRA kyakalakase ebitundu ewabadde wasinga okubeera ebinnya nga […]

Ne ku bivvulu tugenda kulondoola abayimbi abawemula – Gavumenti

Abayimbi abatekaateka okuyimba ennyimba eziwemula ku bivvulu ebitegekeddwa mu nnaku enkulu bubakeeredde, kubanga gavumenti yeeweze okubalondoola ebalemese. Minisita w’ekikula ky’abantu Betty Amongi alabudde nga bwe bagenda n’okuvunaana abategesi b’ebivvulu abanetantala okuleeta abayimbi bano okukuba abantu ensonyi. Kinajjukirwa nti ekitongole ky’ebyempuliziganya ki UCC nakyo kyegatta ku lutalo lw’okulwanyisa ennyimba zino, bwekyawera ennyimba z’abayimbi babiri okuli Gereson […]

Besigye ekkomera lyamwawula ku basibe abalala

Abakulembeze ba FDC ey’e Katonga abeegattira ku kisinde ki People Front for Freedom PFF batisatiisizza okwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulira ekitongole ky’amakomera okwawula Dr Kizza Besigye ku basibe abalala. Okusinziira ku bakyalidde Besigye baamujja dda mu banne so nga tebandyagadde abeere mu kiwuubalo kya Kkomero. Bano babadde bamutwalidde ku bya ssava bya ssekukkulu naye ereme kumuwunyira […]

Omuserikale akubye omuntu amasasi

Omuserika ateeberezebwa okuba omu ku bakuuma ab’ebitiibwa mu ggwanga akidde omugoba w’emmotoka eneetisi y’emigugu namukuba essasi erimuttidewo okumpi ne woteri ya Sheraton mu Kampala. Tukitegedde nti omuserikale ono abadde atambulira ku kabangali ne banne asoose kusaba abadde avuga ,motoka okubadde ebidomola okumuwa ekyanya yye ne banne bayitewo bwaluddewo okubasegulira omuserikale kwekuva ku kabangali namukuba essasi […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps