Hajjati Sharifah Buzeki appointed as new KCCA Executive Director

President Museveni has appointed Hajjati Sharifah Buzeki as the new substantive Executive Director of the Kampala Capital City Authority. She will be deputized by the outgoing Undersecretary at the Ministry of East African Affairs, Benon Kigenyi. The two will formally take over from former directors Dorothy Kisaka and David Luyimbazi, who are facing charges related […]

Piuos Vuso abadde ‘asikaali’ kati munnabyanfuna

Ssabiiti bbiri emabega, ettendekero lya Kyambogo lyatikkira abayizi abasoba mu mutwalo mulamba. Mu bayizi abaatikkirwa essomo ly’okubalirira n’ebyenfuna, Pious Vuso okuva mu district ye Obongi mwe yali. Vuso ono okusoma kwe tekubadde kwangu kubanga abadde akola mulimu gwa bukuumi ne kampuni y’ebyobwerinda ey’obwa nnanyini era nga mw’ajja ekikumi. Atubuulidde nti ddigiri eno etegeeza kinene gyali […]

Busiika awuumye nga abavuzi beetwala mu mpaka za Champions Sprint

Ba ddereeva ba mmotoka z’empaka 56 be beetabye mu mpaka za Champions Sprint olwaleero e Busiika ku Uganda Motor-sports arena. Abaavuzi abeetabyemu batubuulidde ng’empaka bwezibayambye mu kwetegekela sizoni y’omwaka oguuja ezitandika omwezi ogujja. Empaka zino zeezigaddewo sizoni y’omuzannyo gwa motoka z’empaka omwaka guno ate nga zeezisembyeyo mu lwokaano lw’engule ya National Sprint championship.

Etterekero ly’ebitabo eryasooka lyafuuka kyabulambuzi mu Alexandria

Ebiseera nga bino, buli muntu yalyagadde okulambulako mu kifo gy’ayinza okufuna okumanya okwenjawulo okuyinza okumukubira akafaananyi ku byafaayo by’ensi eno. Bw’okyalako mu mawanga nga Misiri okimanya mangu nti ebyafaayo by’ensi bizze biwandiikibwa kuva dda nga nè Yesu omwana atuzaliiddwa tanabaawo. Omusasi waffe SOLOMON KAWEESA yatuseemu mu tterekero ly’ebitabo eryasookerawo ddala mu nsi yonna, wabula wadde […]

Omusango gwa Besigye, Martha Karua azzeemu okusaba olukusa

Ssaalongo Erias Lukwago akakasizza nga Munnamateeka munne Martha Karua okuva mu ggwanga ly’e Kenya bweyazzeemu okuteekayo okusaba kwe eri akakiiko k’eby’amateeka , Law Council, kamukkirize okukulemberamu bannamateeka ba Dr. Kizza Besigye ne Obeid Lutale abakyali ku alimanda e Luzira. Okusinziira ku Lukwago balina essuubi nti ku luno akakiiko ssi kaakwekwasa nsonga yonna kubanga baafubye okutuukiriza […]

Omusajja asse eyamusigulidde omukazi ku Ssekukkulu

Poliisi e Mityana enoonya omusajja Peter Bafiirawala omutuuze ku kyalo Mamba mu gombolola ye Kalangaalo lwa kutta abadde mukwano gwe Godfrey Ssekiwunga lwa nkayana za mukyala. Tukitegedde nti bano baabade ku mwenge, bafiirawala weyakizuulidde nti ssekiwunga amwagalira omukyala , ekyaddiridde kwabadde kulwanagana okukakana nga mutuzze ekiso. Mukaseera kano poliisi ekyanoonya Bafiirawala abitebye.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps