Ekitongole ki KCCA kitaddewo akakiiko akarwanisa obuli bw’enguzi

Ekitongole ki KCCA kitandisewo akakiiko akagenda okwekenneenya n’okunoonyereza ku nsonga z’obuli bw’enguzi mu kitongole ki kino okulaba nga bamalawo obulyake mu kitongole. Kino kiddiridde obuli bw’enguzi obuli mu kitongole nga muno mwotwalira abatembeyi abaggibwako byebantunda nga balina kuwa nguzi okuddamu okubifuna. Rusa olwaleero ayogedde ku nnaku ze ekikumi ezisoose bukya atuula ku bukulu bw’ekitongole kino.

Obubbi bw’ebisolo, poliisi erabudde abalunda ku nnaku enkulu

Ng’ebula olunaku lumu okutuuka ku Ssekukulu y’omwaka guno, poliisi etegeezezza nga bw’enyinyitiza ebikwekweto ku bubbi bw’ebisolo, era ng’ebisolo ebisoba mu bikumi 400 okuli ente n’embuzi byebyakanunulwa okuva mu mikono gy’abanyazi. Okusinziira ku Mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma, ebikwekweto bino ebyatandika mwezi oguwedde bikoleddwa mu disitulikiti okuli Luweero, Nakaseke ne Nakasongola. Ono era asabye […]

Engendo za Ssekukkulu, ab’e Mubende baasuze ku kkubo lwa luguudo

Eby’entambula bisannyaladde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende mubitundu bya Kalongo ne Mukyenda oluvannyuma lw’enkuba okufudemba eviiriddeko oluguudo okuseerera. Tukitegedde nti abagoba abamu baasuze wano olw’embeera y’ekkubo okulabalemesa okweyongerayo era nga akalippagano ketusanzeewo ka maanyi. Oluguudo luno luli mu kukolebwa era ekitongole ekikola enguudo ki UNRA kyakalakase ebitundu ewabadde wasinga okubeera ebinnya nga […]

Ne ku bivvulu tugenda kulondoola abayimbi abawemula – Gavumenti

Abayimbi abatekaateka okuyimba ennyimba eziwemula ku bivvulu ebitegekeddwa mu nnaku enkulu bubakeeredde, kubanga gavumenti yeeweze okubalondoola ebalemese. Minisita w’ekikula ky’abantu Betty Amongi alabudde nga bwe bagenda n’okuvunaana abategesi b’ebivvulu abanetantala okuleeta abayimbi bano okukuba abantu ensonyi. Kinajjukirwa nti ekitongole ky’ebyempuliziganya ki UCC nakyo kyegatta ku lutalo lw’okulwanyisa ennyimba zino, bwekyawera ennyimba z’abayimbi babiri okuli Gereson […]

Besigye ekkomera lyamwawula ku basibe abalala

Abakulembeze ba FDC ey’e Katonga abeegattira ku kisinde ki People Front for Freedom PFF batisatiisizza okwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulira ekitongole ky’amakomera okwawula Dr Kizza Besigye ku basibe abalala. Okusinziira ku bakyalidde Besigye baamujja dda mu banne so nga tebandyagadde abeere mu kiwuubalo kya Kkomero. Bano babadde bamutwalidde ku bya ssava bya ssekukkulu naye ereme kumuwunyira […]

Omuserikale akubye omuntu amasasi

Omuserika ateeberezebwa okuba omu ku bakuuma ab’ebitiibwa mu ggwanga akidde omugoba w’emmotoka eneetisi y’emigugu namukuba essasi erimuttidewo okumpi ne woteri ya Sheraton mu Kampala. Tukitegedde nti omuserikale ono abadde atambulira ku kabangali ne banne asoose kusaba abadde avuga ,motoka okubadde ebidomola okumuwa ekyanya yye ne banne bayitewo bwaluddewo okubasegulira omuserikale kwekuva ku kabangali namukuba essasi […]

20 women earn level one badminton officiation certificates

Twenty female umpires and judges graduated today with Level One certificates in badminton officiation after a four-day training at Nsambya Youth Sharing Hall. Among them is Paralympian Ritah Asiimwe, who believes this certificate will help her earn more from the sport after retiring. According to the Uganda Badminton Association, the course aims to empower more […]

Uganda Cranes begin training for CHAN qualifiers

The Uganda Cranes team began non-residential training yesterday at Hamz Stadium in Nakivubo ahead of the African Nations Championship (CHAN) 2024 Qualifier matches against Burundi. Uganda, Kenya, and Tanzania have already secured their slots in the final tournament, scheduled for February 1 to 28, 2025. Striker Hannington Ssebwalunyo says all players are in camp and […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps