Eyazibira abatuuze ekkubo kati alizimbamu

Abakulu ku munisipaali ye Nansana bateekateeka kusisinkana batuuze b’e Kazo zone II okugonjoola ensonga za nnyini kizimbe gwetwakulaga gyebuvuddeko nga yazimba mu kkubo ly’abatuuze. Tukitegedde nti ono yasitudde buggwe mu kkubo omwali muyita abatuuze, era nga yataddewo n’abakuumi okuziyiza omuntu yenna okusemberera ekifo kino. Kati Meeya we Nansana Regina Bakitte agamba agenda kusisinkana abatuuze abaakoseddwa […]

Minisitule y’ebyensimbi yegaanye bbanka enkulu

Abakulu okuva mu banka enkulu ey’e ggwanga kko ne minisitule y’ebyensimbi bakubaganidde empawa mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti ka COSASE bwe babadde bayitiddwa okunyonyola engeri obuwumbi obusoba mu 60 gye bwabulamu okuva mu banka enkulu.Aba Minisitule y’ebyensimbi babuulidde ababaka nti kkampuni ezaasasulwa ssente tezimanyiddwa mu kkampuni ezikolagana ne gavumenti […]

Taata ataasizza muwala we atulugunyizibwa

Waliwo taata awaliriziddwa okugenda anunule muwala we okuva ku nnyina omuto, alowoozebwa nti abadde amutulugunya.Kino kiddiridde akatambi akasasaanidde omutimbagano nga kalaga omwana ono nga ali mu mbeera etasanyusa, era nga kitaawe bino okubimanya yabadde kyajje atonnye mu ggwanga okuva ku mawanga gy’anoonyeza ekikumi.Newankubadde taata ono yagaanye okuggula omusango gwonna ku mulamu we, poliisi yo egamba […]

Zaake y’alina okwetonda:Omubaka Akol avuddemu omwasi, agamba teyejjusa kye yakola

Omubaka wa Kilak North, Anthony Akol avuddemu omwasi ku by’okukuba mubaka munne owa Munisipaali ye mityana Francis Zaake. 

Akol agamba nti si yeyali mu nsobi era ng’ayagala Zaake amwetondere olw’ebyaliwo.

Wetwogerera nga bannamateeka ba Zaake bamaze okuwandiikira Omubaka Akol nga nga bamulaalika nga bwe bagenda okumukuba mu mbuga z’amateeka. Olwaleero Omubaka Zaake Lwasiibuddwa okuva mu ddwaliro […]

Loodi Meeya Lukwago ayimirizza eby’okubaga embalirira ya KCCA eya 2024 ne 25 olw’ensonga ezenjawulo

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ayise bunnambiro bona abavunanyizibwa kunzirukanya y’ekibuga Kampala, mulukiiko olwawamu ku lunnaku lwa Balaza Wiiki egya, basale entotto, Ku mbalirira ya Kampala ey’omwaka gw’ebyensimbi ogugya 2024/2025, eri mukuteekebwateekebwa gyagamba nti terina kuyisibwa nga bweri.

 Ebimu kwebyo Lukwago byayagala bitunulwemu kwekuba ng’ebintu ebyenkizo gamba nga Kasasiro tebissiddwako ssira mu mbalirira eno […]

Sserunjogi awandiikidde Lukwago ku kwemulugunya kw’abasuubuzi

Abakulembeze mu gombolola y’e Kawempe batiisizatiisiza nga bwebagenda okunga abantu okulekera wo okusasula omusolo gw’amayumba.

Bano bemulugunya olw’engereka n’enkunganya y’omusolo guno gye bagamba nti siyabuntu era ng’enyigiriza abasuubuzi 
.
Bano bawandiikidde Loodi meeya wa Kampala ebbaluwa ku nsonga eno gye bagamba nti yeetaaga okugonjoolwa amangu 


Ab’e Makerere beekalakaasizza lwa nsako y’abayizi, poliisi eriko beekutte

Poliisi eriko abayizi beekutte ku Yunivaasite e Makerere ng’ebalanga kukungaana mu ngeri emenya amateeka 

.Abayizi bano bebo abasasulirwa gavumenti ababadde beekalakaasa olw’a Yunivaasite eno okulwawo okubawa ensako yaabwe .

Ku lwokusatu lwa wiiki eno abatwala ettendekera lino bategeeza ng’esako yabayizi bano bwegenda okusasulwa oluvannyuma lw’onnyongereza ku mbalirira yaabwe okuyitamu 
.

Minisita Byamukama agamba ekisaawe ky’ennyonyi e Hoima kisemberedde okumalirizibwa

Waliwo essuubi nti wegunaatuukira omwana ogujja mu mwezi ogw’omwenda ekisaawe kyennyoni ekye Hoima ki Kabalega International Airport kijja kuba kiggulwawo.

Okusinziira ku Minista Omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama, omulimu gw’okukola ekisaawe kino gubulako ebitundu bitaano byokka guggwe.

Olunaku lw’eggulo Byamukama yalambudde ku mulimu gw’okuzimba ekisaawe kino.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps