‘Mugunjule abaana’ Kaziimba Mugalu akalaatidde abazadde

Ssabalabirizi wa Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye ab’ebyokwerinda okukakkanya ku bukambwe bwe bakozesa nga bakwata abantu naddala abateerezebwa okuba abazzi b’emisango. Kazimba agamba nti enkola ng’eno ettatana ekifananyi ky’ebitongole ebikuuma ddembe, songa era ekuubagana n’entekateeka ey’eddembe ly’obuntu.Bino abyogeredde mu makaage Namirembe bwabadde awa obubaka bwa mazalibwa ag’omwaka guno 2024.

Gavumenti eyagala za kussa bitaala mu kibuga

Minisitule y’ebyensimbi etaddeyo okusaba mu palamenti nga bagala ebakkiriza okwewola obukadde 608 eza doola nga zino zigenda kukozesebwa okukulakulaanya ekibuga Kampala n’ebitundu ebyetolooddewo. Tukitegedde nti abakulu bajja na kwagala okubunya amataala mu kibuga olwo kitangalijje bulungi.Kyokka okusaba kuno kugenze okujja, ng’ebbanja lya Uganda lisuza eggwanga ku bunkenke bw’okuyingira akatyabaaga k’ebyenfuna. Bano era banjudde n’ekiwandiiko ky’embalirira […]

URA esabye ebikwata ku ba kasitoma ba NWSC

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority kikakasizza nga bwekyawandiikidde ekitongole ky’amazzi ki National Water and Sewerage Corporation nga kikisaba amannya, ennamba z’amasimu n’ebintu ebirala byonna ebikwata ku bantu abakozesa amazzi nga kino kyakubayambako mu kufefetta abo abeebalama okuwa omusolo.Okusinzira ku URA, bino byakusinga kweyambisibwa mu kulondoola abo abayina okusasula omusolo ogwagerekebwa ku nnyumba ezipangisibwa.

Omuliro e Makerere: Ssente z’ekibiina ezaabuze ze zibizadde

Waliwo ebyogerwa nti enkaayana za ssente z’ekibiina ezaabuze, zandiba nga ze zaaviriiddeko omuliro ogwakutte e makerere kavule mu kilo ekimanyiddoa nga ku bbiri era negusanyaawo ebintu bya bukadde.Tukitegedde nti ba memba mu kibiina ky’abantu ababadde bakolera wano, olunaku lw’eggulo baafunyemu okukaayana, oluvannyuma lw’omuwanika waabwe okukabatyema nti ku ssente ze babadde batereka, kubuzeeko obukadde 25.Poliisi emaze […]

Mmotoka z’empaka: Abavuzi beesunga Busiika

Dereeva wa motoka z’empaka Omar Mayanja wakuyingira ensiike mu mpaka za champions sprint ezigenda okutunkira e Busiika ku boxing day nga anonya buwanguzi bwangule y’omwaka mu lw’okano lwa national sprint championship.Mayanja mukisera kino asibaganye ne Ronald Ssebuguzi mu kifo eky’okubiri nga bombi balina obubonero munana.Atubuulidde engeri gye yetegekeddemu empaka zino.

Eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya afudde

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gy’eyaliko Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Nelson Kawalya eyavudde mu bulamu bw’ensi mu kiro ekikeesezza olwaleero.Kawalya ayogeddwako ng’eyali omusaale mu kulwanyisa endwadde mu Buganda mu kiseera w’eyaweerereza Obwakabaka nga Minisita w’ebyobulamu ate era nga yakola kinene okuleetawo obumu mu Lukiiko lwa Buganda mu kiseera ky’emyaka omusavu gyeyamala nga alukubiriza.

Okubba ettaka lya kkanisa: Omulabirizi Kagodo akangudde ku ddoboozi

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono Enos Kitto Kagodo munakuwavu eri bannakigwanyizi abefunyiridde omuze ogw’okubba ettaka ly’obulabirizi, olumu nga bakikola mu bwanantagambwako.Omulabirizi agamba nti bazze beekubira enduulu mu bakulu ab’enjawulo okuli ne minisitule y’ebyettaka, kyoka byonna mpaawo kye biyambye. Okwongera bino,Kagodo abadde awa bubaka bw’amazaalibwa ag’okubaawo ku lw’okusatu lwa sabiiti ejja.

E Kiryandongo waliwo asengula ebyalo

Abatuuze abasoba mu 250,000 okuva ku byalo bitaano mu disitulikiti ye Kiryandongo beekubidde enduulu oluvanyuma lw’okukimanyaako nti abeeyita ba nnyini ttaka kwe batudde bateekateeka kubagoba.Ettaka okuli embiranye liweza obugazi bwa Square Kilomita namba , kyoka nga likayanirwa abaana ba Brigadier Sabuni Tungatisa agambibwa okulifunako liizi ya myaka 49 okuva mu mwaka 1980.Minisita Sam Mayanja agumizza […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps