Fr Ssebunya ayambalidde abatendeka abaana ebitaggya mu myaka gyabwe

Ekeleziya eyagala gavumenti etandike okulondoola enyimba eziyimbibwa abayizi ku bubaga obw’enjawulo naddala obuggalawo omwaka gw’ebyensoma oba Speech Day, ng’egamba waliwo amasomero agatendeka abayizi ennyimba n’amazina ebitagya mu myaka gyabwe. Bino byogeddwa Rev Fr Joseph Mary Ssebunya mukuyimba mmisa y’abaana etegekeddwa ku Lutikko e Lubaga nga ekeleziya yeefumiitiriza ku lunaku lw’abaana abaalangibwa obusa.

Waliwo omukazi akawatiddwa lwa kusibira baana mu nju

Ab’obuyinza ku kyalo Kazo Central Zone 1 mu gombolola ye Nansana, bakutte maama ow’abaana babiri, ng’alangibwa kubasibiranga mu nnyumba yye n’agenda okunywa omwenge. Abatuuze bagamba nti baludde nga balaba omukyala ono Sarah Nakibuule nga asibira abaanabe mu nnyumba ne basiiba njala, ekibawaliririzza okwekubira enduulu. Poliisi etubuulidde nti ono agenda kuggulwako gwa kubonyabonya baana.

E Kanyanya waliwo abamaze wiiki nga tebalaba mwana waabwe

Waliwo abazadde abasobeddwa ewaka ne mukibira oluvanyuma lw’okubulwako omwana waabwe ow’emyaka etaano, nga kati wayise wiiki nnamba nga tamanyiddwako mayitire. Omwana ono ategeerekese nga ye Patricia Maasa alabwako mu katambi ka kamera z’okunguudo nga aliko omukazi gwagenda naye wadde nga abazadde bagamba nti omuntu ono tebamumanyi. Ensonga zino Poliisi yatandise dda okuzigoberera.

Obufere mu zzaabu, e Ntebe waliwo akwatiddwa

Police Entebbe n’akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’omukulembeze baliko ekikwekweto kye bakoze, mwe bagwiiridde ku kifo ekijudde zzaabu ow’ebicupuli n’ensimbi. Kino kizzeewo oluvannyuma lw’amawulire ameekusifu bano gebazze bafuna nti waliwo zzaabu omujingirire ayisibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe okugenda mu mawanga amalala. Tutegeezeddwa nti ensimbi ezisangiddwayo ziri kumpi mu bukadde busatu obwa doola wabula ng’ezisinga […]

Bizibu ki ebilindiridde Sharifah Buzeki mu KCCA?

Olunaku olw’eggulo kyakakasiddwa ng’omukulembeze we ggwanga bweyalonze Sharifah Buzeki okukulira KCCA , amyukibwe Benon Moses Kigenyi nga badda mu bigere bya Frank Rusa abadde akuuma entebe eno. Kati leero twogeddeko ne bannakampala ne batubuulira nti bano bwebaba bakutereera mu bifo bino bafeeyo nnyo ku nguddo embi ezijjudde ebinya, kasasiro ayetuumye kko n’abatembeyi abazze bagobaganyizibwa buli […]

Abatuuze baliko bye basabye kkooti mu musango ogw’awaabwa NEMA

Abatuuze ekitongole ki NEMA bekyalaalika okusengula ku byalo bisatu okuli Busabala, Bugu ne Kibiri ,baagala kkooti erindeko okuwa ensala yaayo ku musango gwe baawawabira NEMA ogw’okwagala okubasengula mu bukyamu.Okusinziira ku ludda oluwaabi, kkooti eyina okusooka okuwulira okusaba kwabwe kwebaatadde mu kkooti nga baagala minisita avunanyizibwa ku butonde n’amazzi n’omuwolereza wa gavumenti bavunaanibwe wamu ne NEMA […]

Gwe basanze mu bwenzi asse bba e Luweero

Poliisi mu district y’e Luwero etandise okunoonyereza ku mukyala eyakkakanye ku bba n’amukuba ejinja eryamugye mu budde. Charles Bunjo atemera mu gy’obukulu 54 kati z’embuyaga ezikaza engoye nga kikambibwa nti ono okulwanagana ne mukyala we Regina Namande ow’emyaka 38 yabadde amulanga bwenzi nga yatuuse n’okuleeta omusajja omulala mu maka ge.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps