Abavuzi 53 be bakewandiisa okwetaba mu mpaka za Champions Sprint

Baddereeva ba motoka z’empaka 53 bebaakewandisa okwetaba mu mpaka za Champions Sprint ezigenda okutojjera e Busiika ku Uganda Motorsports arena ku boxing day. Empaka zino zeziggalawo sizoni y’omuzannyo gwa motoka z’empaka omwaka guno ate nga zezisembayo mu lw’okaano lw’engule ya national sprint championship. Twogedeko ne Dr. Godfrey Nsereko omu kubeetegekera empaka zino.

Eby’okwerinda by’olunaku, aba biici, wooteli n’ebbaala balabuddwa

Abebyokwerinda Entebbe bakkaanyizza obutawa muntu yenna kakalu ka police kasita akwatiibwa mu musango gwonna mu nnaku z’ebikujjuko. Okusinziira ku RDC w’e Entebbe Hakim Kiriggwa , baamaze dda okuta buli abadde mu kaduukulu ku misango emitonotono okusobola okufuna aw’okusibira abanaakwatibwa. Ab’ebyokwerinda era baweze abaana okuwugira mu nnyanja , bbaala eziwogganya endongo n’ebiragiro ebirala bye bawedde.

E Ndaiga abakazi b’embuto bayita mu bugubi

Egombolola Ndaiga esangibwa ku Nyanja Muttanzige oba Albert esalagana n’e ggwanga li Congo mu disitulikiti ye kagadi ng’ewangaliramu abantu abasoba mu mitwalo ebiri. Eky’ennaku bano balina eddwaliro limu lyokka ku mutendera gwa Health Center two kyokka nga lyesudde wala nnyo n’ebitundu ebimu naddala eby’ebizinga. Mu mboozi eno ey’ebitundu ebibiri tugenda kukulaga okusomooza abatuuze beeno kwe […]

Ab’e Kalungu balaajanye lwa kirombe kya ba-china

Mu disitulikiti ye Kalungu abatuuze ku byalo bisatu mu ggombolola y’e Bukulula basattira olwa bbaluti ezikubwa okuva mu kirombe gye baasiza amayinja. Ekirombe ekyogerwako kidukanyizibwa kampuni ya China eya China Construction Company nga muno mwemuva mayinja agadaabiriza oluguudo lwa Kampala-Masaka mu bitundu bya Katonga ne Lwera. Abakulira kampuni eno bagambye nti bali mu ntekateeka za […]

Ebbula ly’emirimu mu basawo, waliwo amawanga agaala bagende bakole

Ekimu ku bizibu Uganda by’esinga okusanga mu nsonga z’ebyobulamu, be basawo abatamala, kyokka okusinziira ku gavumenti , waliwo amawanga agalaze obwetaavu bw’okutwala abasawo abalala okuva wano. Kyokka okusinziira ku minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’embeera zaabwe Betty Amongi, Uganda yateekebwa ku lukalala lw’amawanga agatakkirizibwa kuweereza basawo baayo wabweru wa ggwanga olw’ensonga nti nayo yennyini abasawo b’erina […]

Aba famire ya Julius Ssekamwa baagala bwenkanya

Abeng’anda z’omusajja Julius Ssekamwa omuserikale akuuma abakungu gweyakubye essasi n’amutta olunaku olw’eggulo baagala omuserikale eyakoze kino akwatibwe era asasulire kyeyakoze. Omugenzi Ssekamwa okuttibwa yamaze kufuna butakaanya na baserikale abaabadde ku kabangali, ababade baagala okubasegulira bayitewo, bweyaluddewo omu ku bbo namukuba essasi eryamuttiddewo.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps