Omuserikale eyasse Julius Ssekamwa tannakwatibwa

Police etubuulidde nti nakati tenakwata musajja waayo Charles Bahati agambibwa okuba ng’olunaku lweggulo yeyavudde mu mbeera natta omugoba w’e mmotoma eneetisi y’emigugu Julius Ssemwaka. Ayogerera Poliisi mu gwanga Rusoke Kituuma atubuulidde nti newankubadde musajja waabwe tebanamukwata naye bakakasa nti kyeyakoze kyonna yabadde nsobi. Poliisi yeeyamye okukola ku byokuziika byonna.

Temudda mu ttamiiro ne bwenzi – bannadiini balabudde abakkirizza

Bannaddiini mu bitundu by’e Tooro baagala abalonzi okweyambisa omwaka ogujja 2025, okwetegereza engeri gye bagenda okulondamu mu kalulu ka 2026. Bano okuli omulabiririzi w’e Rwenzori n’omusumba w’essaza ly’e Fort Portal Robert Muhiirwa bennyanvu olw’obwavu mu kitundu kyabwe ekiviiriddeko obuseegu okweyongera nga kati n’abawala abateetegese bafuna embuto. Bino bibadde mu bubaka bwabwe obwa Ssekukkulu.

Ssaabasajja Kabaka awadde obubaka bwa Ssekukkulu

Ssaabasajja Kabaka wa Ronald Muwenda Mutebi ssi musanyufu n’engeri palamenti gy’ekubaganyaamu ebirowoozo ku nsonga eziruma eggwanga,nga kino akyesigamizza ku kulwanagana mu babaka okuzze kubeera mu palamenti eno. Kabaka agamba nti okulwanagana nga kuno kulaga nti alina amaanyi agalwana ekiteesokye kye kiyitamu. Obunyikaavu buno abutadde mu bubaka bw’amazaalibwa bw’atisse omwogezi w’obwakabaka Owek.Israel Kazibwe Kitooke.

Okugula ebya Ssekukkulu, abasuubuzi baagala gavumenti esale ku misolo

Abasuubuzi abakolera mu Kibuga kampala baagala Gavumenti esale ku misolo gy’ebaggyako kibayambe okukola ku magoba naddala mu kaseera nga kano ak’ennaku enkulu. Bano betusanze nga batunda eby’ennaku enkulu batubuulidde nti abaguzi baakunoonya bunoonya nga kino kiva ku buseere bwabyo. Ekibuga kyonna kisiibye mu mugotteko olw’abantu ababade bazze okwegulira ku byokulya, okwambala n’okwewunda, songa abalala bafuluma […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps