Ab’e Kalungu balaajanye lwa kirombe kya ba-china

Mu disitulikiti ye Kalungu abatuuze ku byalo bisatu mu ggombolola y’e Bukulula basattira olwa bbaluti ezikubwa okuva mu kirombe gye baasiza amayinja. Ekirombe ekyogerwako kidukanyizibwa kampuni ya China eya China Construction Company nga muno mwemuva mayinja agadaabiriza oluguudo lwa Kampala-Masaka mu bitundu bya Katonga ne Lwera. Abakulira kampuni eno bagambye nti bali mu ntekateeka za […]

Ebbula ly’emirimu mu basawo, waliwo amawanga agaala bagende bakole

Ekimu ku bizibu Uganda by’esinga okusanga mu nsonga z’ebyobulamu, be basawo abatamala, kyokka okusinziira ku gavumenti , waliwo amawanga agalaze obwetaavu bw’okutwala abasawo abalala okuva wano. Kyokka okusinziira ku minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’embeera zaabwe Betty Amongi, Uganda yateekebwa ku lukalala lw’amawanga agatakkirizibwa kuweereza basawo baayo wabweru wa ggwanga olw’ensonga nti nayo yennyini abasawo b’erina […]

Aba famire ya Julius Ssekamwa baagala bwenkanya

Abeng’anda z’omusajja Julius Ssekamwa omuserikale akuuma abakungu gweyakubye essasi n’amutta olunaku olw’eggulo baagala omuserikale eyakoze kino akwatibwe era asasulire kyeyakoze. Omugenzi Ssekamwa okuttibwa yamaze kufuna butakaanya na baserikale abaabadde ku kabangali, ababade baagala okubasegulira bayitewo, bweyaluddewo omu ku bbo namukuba essasi eryamuttiddewo.

Omuserikale eyasse Julius Ssekamwa tannakwatibwa

Police etubuulidde nti nakati tenakwata musajja waayo Charles Bahati agambibwa okuba ng’olunaku lweggulo yeyavudde mu mbeera natta omugoba w’e mmotoma eneetisi y’emigugu Julius Ssemwaka. Ayogerera Poliisi mu gwanga Rusoke Kituuma atubuulidde nti newankubadde musajja waabwe tebanamukwata naye bakakasa nti kyeyakoze kyonna yabadde nsobi. Poliisi yeeyamye okukola ku byokuziika byonna.

Temudda mu ttamiiro ne bwenzi – bannadiini balabudde abakkirizza

Bannaddiini mu bitundu by’e Tooro baagala abalonzi okweyambisa omwaka ogujja 2025, okwetegereza engeri gye bagenda okulondamu mu kalulu ka 2026. Bano okuli omulabiririzi w’e Rwenzori n’omusumba w’essaza ly’e Fort Portal Robert Muhiirwa bennyanvu olw’obwavu mu kitundu kyabwe ekiviiriddeko obuseegu okweyongera nga kati n’abawala abateetegese bafuna embuto. Bino bibadde mu bubaka bwabwe obwa Ssekukkulu.

Ssaabasajja Kabaka awadde obubaka bwa Ssekukkulu

Ssaabasajja Kabaka wa Ronald Muwenda Mutebi ssi musanyufu n’engeri palamenti gy’ekubaganyaamu ebirowoozo ku nsonga eziruma eggwanga,nga kino akyesigamizza ku kulwanagana mu babaka okuzze kubeera mu palamenti eno. Kabaka agamba nti okulwanagana nga kuno kulaga nti alina amaanyi agalwana ekiteesokye kye kiyitamu. Obunyikaavu buno abutadde mu bubaka bw’amazaalibwa bw’atisse omwogezi w’obwakabaka Owek.Israel Kazibwe Kitooke.

Okugula ebya Ssekukkulu, abasuubuzi baagala gavumenti esale ku misolo

Abasuubuzi abakolera mu Kibuga kampala baagala Gavumenti esale ku misolo gy’ebaggyako kibayambe okukola ku magoba naddala mu kaseera nga kano ak’ennaku enkulu. Bano betusanze nga batunda eby’ennaku enkulu batubuulidde nti abaguzi baakunoonya bunoonya nga kino kiva ku buseere bwabyo. Ekibuga kyonna kisiibye mu mugotteko olw’abantu ababade bazze okwegulira ku byokulya, okwambala n’okwewunda, songa abalala bafuluma […]

Bubuuno obukodyo CAA bw’ekozesa okulwanyisa ebinyonyi ku kisaawe

Amawanga mangi gazze gajjumbira omulanga gw’okukuuma kko n’okutaatira ebisolo n’ebinyonyi by’omunsiko. Kino kyongedde ku muwendo gw’ebinyonyi ne bisolo bino naddala wano mu uganda , kyoka kino kitandise ate okufuuka eky’obulabe eri entambula y’omubbanga naddala ennyonyi. Newankubadde olumu obulabe ebinyonyi bwe bitera okuleeta ku nnyonyi tebubeera bw’amaanyi, kikosa obulamu bw’ebinyonyi. Musasi waffe yabaddeko ku kisaawe e […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps