Bizibu ki ebilindiridde Sharifah Buzeki mu KCCA?

Olunaku olw’eggulo kyakakasiddwa ng’omukulembeze we ggwanga bweyalonze Sharifah Buzeki okukulira KCCA , amyukibwe Benon Moses Kigenyi nga badda mu bigere bya Frank Rusa abadde akuuma entebe eno. Kati leero twogeddeko ne bannakampala ne batubuulira nti bano bwebaba bakutereera mu bifo bino bafeeyo nnyo ku nguddo embi ezijjudde ebinya, kasasiro ayetuumye kko n’abatembeyi abazze bagobaganyizibwa buli […]

Abatuuze baliko bye basabye kkooti mu musango ogw’awaabwa NEMA

Abatuuze ekitongole ki NEMA bekyalaalika okusengula ku byalo bisatu okuli Busabala, Bugu ne Kibiri ,baagala kkooti erindeko okuwa ensala yaayo ku musango gwe baawawabira NEMA ogw’okwagala okubasengula mu bukyamu.Okusinziira ku ludda oluwaabi, kkooti eyina okusooka okuwulira okusaba kwabwe kwebaatadde mu kkooti nga baagala minisita avunanyizibwa ku butonde n’amazzi n’omuwolereza wa gavumenti bavunaanibwe wamu ne NEMA […]

Gwe basanze mu bwenzi asse bba e Luweero

Poliisi mu district y’e Luwero etandise okunoonyereza ku mukyala eyakkakanye ku bba n’amukuba ejinja eryamugye mu budde. Charles Bunjo atemera mu gy’obukulu 54 kati z’embuyaga ezikaza engoye nga kikambibwa nti ono okulwanagana ne mukyala we Regina Namande ow’emyaka 38 yabadde amulanga bwenzi nga yatuuse n’okuleeta omusajja omulala mu maka ge.

Mwerabidde abeewayo ku lwammwe – Bobi Wine alangidde aba NUP

Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu munyikaavu eri bannabyabufuzi abatakyafaayo ku bawagizi b’ekibiina abangi abaasibwa, abalala ne battibwa wakati mu kubanoonyeza akalulu mu mwaka gwa 2021. Kyagulanyi agamba nti bangi ku bakulembeze tebakyafaayo na kuyamba bang’anda zaabo abaafiirwa baabwe, kyokka nga ku kulafuubana kwabwe kwe baayitira okutuuka mu bifo mwebeyagalira. Bino abyogeredde […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps