Ebyokwerinda ku Ssekukkulu, UPDF ekakasizza bannasi ba Congo

Amaggye g’e Ggwanga agalwanyisa abayeekera mu ggwanga li Congo wansi w’e kikwekweto SHUJAA basiibye bulindaala okwanganga abayeekera ba ADF abatera okukola obulabe ku bannayuganda ne bannansi ba Congo mu kadde ak’ennaku enkulu. Mu buufu buno aduumira ekibinja kino Maj,Gen Richard Otto alambudde ku bajaasi bano n’abakalaatira okukola obutaweeera okulaba nga tewaba muyeekara yenna abayita mu […]

Musasaanye ku ssente zammwe – Abasumba bakubirizza abalokole

Abakkiriza basabiddwa okwejjiramu ddala okweyagaliza, omulugube n’okwefaako bokka bayambe bonna abali mu bwetaavu. Bino byogeddwa okulira enzikiriza y’abalokole wansi w’ekibiina ki Born Again Faith Dr Joseph Sserwadda mu kusaba kwamazaalibwa ku kanisa ya Victory Christian Life Church mu Ndeeba.

Ssenyonyi aloopedde bannadiini ensonga

Omusumba omukulu ow’ekanisa ya St Andrew’s Church Bukoto Rev Canon Michael Mukhwana asabye abakuuma ddembe okukomya obwanantagambwako ekibaviirako okukozesa obubi emmundu. Bino abyogeredde mu kusaba kwa ssekukulu ku St Andrew’s Church Bukoto. Ye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi asinzidde eno okusaba bannayuganda okujumbira eby’obufuzi n’okusabira eggwanga ku buli bw’enguzi obukudde ejjembe ensangi […]

Temukebeza baana ndaba-butonde – Ssaabalabirizi Kaziimba akalaatidde abazadde

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Stephen Kaziimba Mugalu awakanyizza eky’abazadde abakebeza abaana endagabutonde n’ekigendererwa eky’okukakasa nti baabwe. Kaziimba agamba nti abaana nga bano kigwanye abazadde babeere nabo ng’abaana bebayola obwozi okusinga okubakebeza ate nekisattulula amaka. Ssaabakabirizi yakulembeddemu okusinza kwa ssekukkulu ku kkanisa ya All Saints e Nakasero.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps