Yinsuwa zibaliyirire, abaafiiriddwa ebyabwe mu muliro gw’okubbiri bawabuddwa

Abakugu mu nkola ya Yinsuwa bawabudde abaafiiriddwa ebintu byabwe mu muliro ogwakutte Garagi y’e mmotoka e mulago kubbiri okuddukira mu yinsuwa zaabwe zibaliyirire naddala eri abo ab’ebidduka. Kinajjukirwa nti bangi ku bannyini mmotoka baabadde batadde nnyini kifo ku nninga okubaliyirira, newankubadde naye teyasigazza kantu. Kati aba Yinsuwa bagamba nti tegugwana kuba mutawaana gwa nnyini kifo […]

Poliisi ennyonnyodde lwaki obubenje bw’okunguudo bukyali butono

Poliisi y’ebidduka etubuulidde nga eky’okuyiwa basajja baayo ku nguudo ng’obudde bukyali ,bwe kiyambye ennyo okutangira obubenje obungi obutera okugwawo mu kaseera kano ak’ennaku enkulu. Ayogerera ekitongole kino Micheal Kananura atubuulidde nti tebannafunayo kabenja kamaanyi mu ggwanga lyonna nga kekuusa ku nnaku nkulu , ekibawadde amaanyi nti ebikwekweto byabwe bivuddemu ekiramu. Kyoka alabudde abagoba be biduka […]

Enkuba esudde weema omusula ababundabunda

Abantu abaasimatuka okubumbulukuka kw’ettaka e Bulambuli ne batwalibwa mu gombolola ye Bunambutye wetwogerera bali mu kuyagga. Kyaddiridde kibuyaga okumenya weema mwe babadde basula. Kiddiridde nnamutikwa w’enkuba eyatonye akawungeezi k’eggulo, eyalese weema saatu ennena mwebasula nga ziri ku ttaka n’abantu musanvu ne bafuna ebisago ebyamaanyi. Batubuulidde nti ekiro ekikeeseza olwaleero baasuze mu mpewo.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps